Add parallel Print Page Options

Amakulu g’Ekirooto

15 (A)“Nze Danyeri ne ntawaanyizibwa mu mutima, n’okwolesebwa kwe nafuna ne kunneeraliikiriza.

Read full chapter

28 (A)“Ebigambo ebyo wano we bikoma. Naye nze Danyeri natawaanyizibwa nnyo mu mutima, n’amaaso gange ne gammyuka, naye ensonga ezo ne nzeekuuma.”

Read full chapter

27 (A)Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. N’oluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.

Read full chapter

16 (A)Awo ne wajja eyafaanana ng’omuntu n’akoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era n’amaanyi sirina olw’ebyo bye njolesebbwa. 17 (B)Nnyinza ntya nze omuddu wo okwogera naawe ggwe mukama wange? Amaanyi gampweddemu, sikyayinza na kussa bulungi mukka.”

Read full chapter