Add parallel Print Page Options

29 (A)Awo abayigirizwa ne bamalirira okuweereza obuyambi eri abooluganda abaali mu Buyudaaya, buli muntu nga yeesonda nga bwe yasobola,

Read full chapter

30 (A)ne batuma Balunabba ne Sawulo batwalire abakadde.

Read full chapter

25 (A)Naye kaakano ndaga e Yerusaalemi okuweereza abatukuvu. 26 (B)Ab’omu Makedoniya ne mu Akaya baasanyuka okuwaayo ku byabwe eri abatukuvu abaavu ab’omu Yerusaalemi. 27 (C)Baasanyuka era balina ebbanja gye bali, kubanga ng’Abaamawanga bwe baagabana ku bintu eby’omwoyo okuva gye bali, n’Abaamawanga nabo basaanye okubaweereza mu bintu eby’omubiri. 28 Noolwekyo bwe ndimaliriza ekyo ne mbakwasa ekibala ekyo, ndiyitira ewammwe nga ŋŋenda Esupaniya.

Read full chapter

31 (A)mpone abo abajeemu mu Buyudaaya, n’obuweereza bwange busiimibwe abatukuvu mu Yerusaalemi,

Read full chapter

Okuyamba Abantu ba Katonda

16 (A)Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya. (B)Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. (C)Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi. Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.

Read full chapter

15 (A)Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba

Read full chapter

Okugaba kw’Abakristaayo

(A)Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya. Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo. (B)Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira. (C)Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu.

Read full chapter

10 (A)Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ng’ekyo kye nnali nesunga okukola.

Read full chapter