Add parallel Print Page Options

23 (A)Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba.

Read full chapter

27 (A)Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta, 28 (B)ne bakola ebyo omukono gwo n’okuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo.

Read full chapter

(A)Era

“Lye jjinja abantu lye beekoonako,
    lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.”

Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.

Read full chapter

(A)Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
    era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,
abanyage, ababbire ddala,
    n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.

Read full chapter

25 (A)Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
    ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
    ebintu bye wateekateeka edda,
    mu bwesigwa bwo.

Read full chapter

(A)Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
    ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
    tekirizimbibwa nate.

Read full chapter