Add parallel Print Page Options

30 (A)Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.

Read full chapter

(A)Era Kabona Asinga Obukulu n’ab’Olukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.

Read full chapter

16 (A)Olw’essuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba n’emmeeme ennongoofu eri Katonda n’eri abantu.

Read full chapter

(A)Kubanga nze seemanyiiko nsonga yonna, wabula ekyo tekimpeesa butuukirivu, naye ansalira omusango ye Mukama waffe.

Read full chapter

Pawulo akyusa mu ntegeka ze

12 (A)Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli.

Read full chapter

Okwebaza n’Okugumya

(A)Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro.

Read full chapter

18 (A)Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo mulungi, era twagala okukolanga obulungi mu buli kimu.

Read full chapter