Add parallel Print Page Options

31 (A)Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.

Read full chapter

10 (A)Ne bayita ku bakuumi abasooka n’abookubiri ne batuuka ku luggi olunene olw’ekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika n’amuleka.

Read full chapter

(A)Laba malayika wa Mukama n’ayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika n’akuba ku Peetero mu mbiriizi n’amuzuukusa ng’amugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.

Read full chapter