Add parallel Print Page Options

10 (A)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”

Read full chapter

Peetero Alabikirwa

(A)Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba. 10 (B)Yali ali eyo enjala n’emuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye n’ewaanyisibwa n’ayolesebwa. 11 N’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ng’essuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka. 12 Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, n’ebyewalula byonna eby’oku nsi n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga. 13 Awo n’awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Peetero, situka osale, olye!”

14 (C)Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”

15 (D)Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, “Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.”

16 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ng’essuuka ne kizzibwayo mu ggulu.

17 (E)Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi 18 nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.

19 (F)Awo Peetero bwe yali ng’akyebuuza eby’okwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu n’amugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya. 20 (G)Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”

21 Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”

22 (H)Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu w’ekitongole y’atutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda n’amugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda by’ayagala akole.” 23 (I)Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.

Peetero mu maka ga Koluneeriyo

24 (J)Ku lunaku olwaddirira Peetero n’atuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ng’ali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero. 25 Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo n’agwa wansi mu maaso ge n’amusinza. 26 (K)Naye Peetero n’amuyimusa n’amugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”

27 N’agolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde. 28 (L)Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu. 29 Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”

30 Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana. 31 N’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo by’ogabira abaavu. 32 Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi w’amaliba ali ku lubalama lw’ennyanja.’

Read full chapter