Add parallel Print Page Options

(A)Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

Read full chapter

13 Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

Read full chapter

15 (A)Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa.

Read full chapter

17 (A)N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako,

“ensi ekolimiddwa ku lulwo;
    mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya
    ennaku zonna ez’obulamu bwo.

Read full chapter

Katonda asalira abantu omusango

(A)Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna.

Read full chapter

(A)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
    kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.

Read full chapter

(A)Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
    era gulwadde endwadde etawonyezeka.
    Ani ayinza okugutegeera?

Read full chapter

11 (A)Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”

Read full chapter

15 (A)ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu.

Read full chapter

(A)“Kubanga gye ndi,
    bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa.
Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi,
    bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.

Read full chapter