Add parallel Print Page Options

Etteeka ku Bisolo Ebitali Birongoofu

24 “Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 25 (A)Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

26 “Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu. 27 Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli.

Read full chapter

43 (A)Temuganyanga kwonoonebwa bitonde ebyo n’ekimu. Temubikozesanga temulwa kweyonoona, era temubikkirizanga kubafuula abatali balongoofu.

Read full chapter

(A)Era omuntu yenna anaakwatanga ku musajja oyo alina ebimuvaamu, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.

Read full chapter