Add parallel Print Page Options

Abagenge Okufuulibwa Abalongoofu

14 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Lino lye tteeka erinaagobererwanga ku lunaku omugenge lw’anaafuulibwanga omulongoofu mu ngeri entongole ng’aleeteddwa eri kabona. (B)Kabona anaafulumanga n’agenda ebweru w’olusiisira n’akebera omuntu oyo. Awo bw’anaasanganga ng’obulwadde bw’ebigenge[a] bumuwonyeeko, (C)kabona anaalagiranga okuleetera omuntu oyo agenda okufuulibwa omulongoofu, ebinyonyi bibiri ebiramu ebirongoofu, n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu. Kabona anaalagiranga okuttira emu ku nnyonyi ziri ebbiri waggulu w’amazzi amalungi agali mu luggyo. (D)Anaddiranga ennyonyi ennamu, awamu n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu, byonna ebyo n’abinnyika mu musaayi gw’ennyonyi enettirwanga waggulu w’amazzi amalungi. (E)Anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo omulwadde w’ebigenge agenda okufuulibwa omulongoofu; era anaamulangiriranga nti mulongoofu. Ekinyonyi kiri ekiramu, kabona anaakirekanga n’ekibuuka n’ekigenda. (F)Omuntu oyo anaabanga agenda okufuulibwa omulongoofu anaayozanga engoye ze, n’amwako enviiri ze, n’anaaba mu mazzi, n’abeera mulongoofu. Ebyo nga biwedde anaayingiranga mu lusiisira, naye ajjanga kumala ennaku musanvu ng’asula bweru wa weema ye. Ku lunaku olw’omusanvu omuntu oyo anaayongeranga okumwa ku mutwe gwe enviiri ze zonna, anaamwangako n’ebirevu bye, n’ebisige bye, n’obwoya obulala bwonna obumwebwa. Ate anaayozanga engoye ze, n’anaaba omubiri gwe gwonna mu mazzi, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.

10 (G)“Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga abaana b’endiga abalume babiri abataliiko kamogo, n’omwana gw’endiga omuluusi nga gwa mwaka gumu ogw’obukulu, n’aleeterako n’obuwunga obulungi obw’emmere ey’empeke obuweza kilo ssatu obw’ekiweebwayo, ng’abutabudde mu mafuta, n’aleeterako n’ebbakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni eweza desimoolo ssatu eza lita. 11 Awo kabona ow’okulangiriranga omuntu oyo okuba omulongoofu, anaamuleetanga, awamu n’ebiweebwayo bye, awali Mukama Katonda mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 (H)Awo kabona anaddiranga omu ku baana b’endiga omulume n’aguwaayo awamu n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, ng’ekiweebwayo olw’omusango, anaabiwuubanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. 13 (I)Omwana gw’endiga ogwo anaaguttiranga mu kifo ekitukuvu, ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo ekyokebwa we bittirwa. Okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo olw’omusango nakyo kinaabanga kya kabona; nga kitukuvu nnyo. 14 (J)Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo. 15 Kabona anaddiranga ku mafuta ag’omuzeeyituuni ag’omu pakuli n’agafukako mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, 16 anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, n’amansira n’olunwe lwe ku mafuta ag’omuzeeyituuni emirundi musanvu awali Mukama Katonda. 17 Kabona anaddiranga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga ku lukugiro lw’okutu kw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu ky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. 18 Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga mu mutwe gw’oyo ajja okufuulibwa omulongoofu, n’amutangiririra awali Mukama. 19 Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw’ekibi, atangiririre oyo atali mulongoofu ajja okufuulibwa omulongoofu. Oluvannyuma kabona anattanga ekiweebwayo ekyokebwa, 20 (K)n’akiwaayo ku kyoto awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo, n’afuuka mulongoofu.

21 (L)“Naye omuntu oyo bw’anaabanga omwavu ng’ebyo byonna tabisobola, anaaleetanga omwana gw’endiga omulume gumu okuba ekiweebwayo olw’omusango, ne kiwuubibwa okumutangiririranga, okwo n’agattirako ne kimu kya kkumi ekya efa eky’obuwunga obulungi ennyo obutabikiddwa mu mafuta, nga kye kiweebwayo eky’emmere y’empeke, n’agattako n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni; 22 (M)n’amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri, ng’okufuna kwe bwe kunaamusobozesanga; emu eneebanga ya kiweebwayo olw’ekibi, endala nga ya kiweebwayo ekyokebwa. 23 (N)Ebyo byonna eby’okumufuula omulongoofu anaabireetanga eri kabona ku lunaku olw’omunaana, ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, awali Mukama. 24 (O)Kabona anaddiranga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’abiwuuba nga kye kiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa awali Mukama. 25 (P)Kabona anattanga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango; n’addira ogumu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, era ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo. 26 (Q)Kabona anaafukanga agamu ku mafuta mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, 27 n’amansira n’olunwe lwe olwa ddyo agamu ku mafuta ago agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, emirundi musanvu awali Mukama. 28 Era kabona anaasiiganga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. 29 (R)Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye, n’agasiiga ku mutwe gw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, okumutangiririra eri Mukama. 30 (S)Era anaawangayo, ng’obusobozi bwe gye bunaakomanga, amayiba oba enjiibwa ento, 31 (T)ekinyonyi ekimu ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’agattirako n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Kabona anaamutangiririranga oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu eri Mukama. 32 (U)Ago ge mateeka aganaagobererwanga omuntu omugenge anaabanga tasobola biweebwayo ebya bulijjo, alyoke afuuke omulongoofu.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:3 ebigenge Mu Lwebbulaniya, kiyinza okutegeeza n’endwadde endala ez’olususu

(A)“Mugambe abaana ba Isirayiri nti omusajja yenna bw’anaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu. Era lino ly’etteeka ery’obutali bulongoofu bwe obuleeteddwa ebyo ebimuvaamu: obanga bitonnya obutasalako, obanga birekeddaawo, bunaabanga obutali bulongoofu mu musajja oyo.

“Buli kitanda omusajja oyo alina ebimuvaamu ky’anaasulangako kinaabanga si kirongoofu, ne buli kintu ky’anaatuulangako kyonna kinaabanga si kirongoofu. (B)Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda ky’omusajja oyo naye anaafuukanga atali mulongoofu okutuusiza ddala akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. Omuntu yenna anaatuulanga ku kintu kyonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’anaabanga amaze okutuula, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. (C)Era omuntu yenna anaakwatanga ku musajja oyo alina ebimuvaamu, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. (D)Omusajja oyo alina ebimuvaamu bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. Era n’amatandiiko gonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’aneebagaliranga ganaabanga agatali malongoofu, 10 (E)era n’omuntu anaakwatanga ku kintu ekirala kyonna ekinaabanga wansi w’omusajja oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 11 Omuntu yenna, omusajja oyo alina ebimuvaamu gw’anaakwatangako nga tasoose kunaaba mu ngalo mu mazzi anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 12 (F)Ekibumbe kyonna ekikozesebwa mu maka bwe kinaakwatibwangako omusajja oyo alina ebimuvaamu kinaayasibwanga, na buli ekikozesebwa mu maka eky’omuti kinaanaazibwanga mu mazzi.

13 (G)“Omusajja anaabanga alina ebimuvaamu bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu ez’okufuulibwa omulongoofu; anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi amayonjo agakulukuta, bw’atyo anaafuukanga mulongoofu. 14 (H)Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. 15 (I)Kabona anaabiwangayo, ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiririranga omusajja oyo olw’ebimuvaamu eri Mukama.

Read full chapter

Etteeka ku Bisolo Ebitali Birongoofu

24 “Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 25 (A)Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

26 “Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu. 27 Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli.

Read full chapter

39 “Singa ensolo yonna ku ezo ze mukkirizibwa okulya efa, oyo yenna anaakwatanga ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

Read full chapter