Add parallel Print Page Options

Ekiweebwayo olw’Ekibi ekya Kabona n’Abantu

11 (A)“Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi, alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olw’ekibi.

Read full chapter

16 (A)Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe. 17 Mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu n’omu Alooni bw’anaayingirangamu okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, okutuusa lw’anaafulumanga ng’amaze okwetangiririra awamu n’ab’omu maka ge, n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri. 18 (B)Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto.

Read full chapter