Add parallel Print Page Options

Olunaku olw’Okutangiririra

29 (A)“Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe, 30 (B)kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda. 31 (C)Lunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna.

Read full chapter

27 (A)“Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lwe lunaabanga Olunaku olw’Okutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda. 28 Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olw’Okutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda. 29 (B)Omuntu yenna anaagaananga okwefiiriza ku lunaku olwo kinaamugwaniranga okuwaŋŋangusibwa n’aggyibwa mu banne.

Read full chapter

Olunaku olw’Ebiweebwayo olw’Okwetangiririra

(A)“Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna.

Read full chapter