Add parallel Print Page Options

15 (A)“Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.

Read full chapter

16 (A)Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati w’owooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gw’abeera naye.

Read full chapter

Ebigambo Eby’amagezi

23 (A)Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.
    Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.

Read full chapter

(A)Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu,
    naye abakozi b’ebibi tebakola bwe batyo.

Read full chapter

17 (A)Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
    mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
    muwolerezenga bannamwandu.

Read full chapter

16 (A)Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu
    kale byonna ne bimugendera bulungi.
Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter