Add parallel Print Page Options

15 (A)“Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.

Read full chapter

19 (A)Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu.

Read full chapter

Ebigambo Eby’amagezi

23 (A)Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.
    Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.

Read full chapter

Obutabaamu kyekubiira

(A)Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu.

Read full chapter

(A)N’abategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango.

Read full chapter

26 (A)Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.

Read full chapter