Add parallel Print Page Options

10 (A)“ ‘Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga.

Read full chapter

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
    ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
    nziggyaako ebyonoono byange byonna.
(B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
    ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

(C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
    era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
(D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
    ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
    era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
(E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
    kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
(F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
    Ompe amagezi munda ddala mu nze.

(G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
    onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
(H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
    amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
(I)Totunuulira bibi byange,
    era osangule ebyonoono byange byonna.

10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
    era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
    era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
    era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
    n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
    ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
    olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
    n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
    n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
    Omutima ogumenyese era oguboneredde,
    Ayi Katonda, toogugayenga.

18 (R)Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.
    Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 (S)Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,
    ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;
    n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.

Footnotes

  1. 51:7 Ezobu kimera ekisangibwa mu Asiya, era kikozesebwa okutuukiriza obulombolombo obw’enjawulo okutukuzibwa, mu Baebbulaniya

14 Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa. 15 (A)Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.

Read full chapter

22 (A)Omusajja bw’anaakwatibwanga nga yeebase n’omukyala w’omusajja omulala, kale, omusajja akwatiddwa n’omukyala gw’anaabanga yeebase naye, bombi baakuttibwanga. Ekibi musaana mukimalengamu mu Isirayiri.

Read full chapter

25 (A)“Omukazi bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi mu biseera ebitali ebyo ebya buli mwezi nga bwe kiba bulijjo, oba bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka ku za bulijjo eza buli mwezi, anaabeeranga atali mulongoofu mu bbanga ly’anaamalanga ng’avaamu omusaayi, nga mu biseera bye ebya buli mwezi. 26 Buli kitanda ky’anaagalamirangako ng’omusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ng’ekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi eby’okuvaamu omusaayi, era ne buli kintu ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi. 27 Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, N’oluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu. 29 (B)Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. 30 (C)Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi, n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri Mukama olw’ekitali kirongoofu ekimuvaamu.

Read full chapter

19 (A)“ ‘Tosembereranga mukazi ng’oyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ng’ali mu kiseera kye ekya buli mwezi eky’okuvaamu omusaayi mw’abeerera atali mulongoofu.

Read full chapter