Add parallel Print Page Options

(A)Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu.

Read full chapter

(A)Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.”

Read full chapter

13 (A)Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu n’ateelongoosa, anaabanga ayonoonye ennyumba ya Mukama Katonda. Omuntu oyo anaagobwanga mu Isirayiri. Kubanga teyamansirwako mazzi agalongoosa, anaabeeranga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe bunaamusigalangako.

Read full chapter

Ekibonerezo eky’Obuteerongoosa

20 “Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateerongoosenga anaagobwanga mu banne bonna, n’asalibwa ku kibiina kyabwe, kubanga anaabeeranga ayonoonye awatukuvu wa Mukama Katonda. Amazzi agalongoosa nga tegamumansiddwako, taabeerenga mulongoofu.

Read full chapter

25 (A)Awo kabaka n’agamba Zadooki nti, “Zzaayo essanduuko ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, ne ngirabako n’ekifo Mukama ky’abeeramu.

Read full chapter

(A)Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera n’akiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ng’agamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna.

Read full chapter

14 (A)asinziira mu kifo kye mw’abeera
    n’alaba abantu bonna abali ku nsi.

Read full chapter

Bookezza awatukuvu wo;
    ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.

Read full chapter

(A)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.

Read full chapter

11 (A)Noolwekyo nga bwe ndi omulamu, olw’okuyonoonesa awatukuvu wange ne bakatonda abalala ab’ekivve, n’ebikolwa byammwe eby’ekivve, nze kennyini kyendiva nnema okukulaga ekisa, era sirikulaga kisa wadde okukusaasira, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

38 Ne kino bakinkoze. Mu kiseera kyekimu boonoonye ekifo kyange ekitukuvu, era boonoonye ne Ssabbiiti zange.

Read full chapter