Add parallel Print Page Options

10 (A)“Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo by’Obwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe n’azita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye.

Read full chapter

53 (A)Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Obujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa.”

Read full chapter

22 (A)Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”

Read full chapter

Abayisirayiri balinnyibwa ku nfeete mu kibuga Ayi

(A)Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo Mukama n’asunguwalira nnyo eggwanga lya Isirayiri.

Read full chapter

18 (A)ate mmwe ne mulekeraawo okugoberera Mukama Katonda? Bwe munaajeemera Mukama leero, enkya ajja kunyiigira eggwanga lyonna erya Isirayiri.

Read full chapter