Add parallel Print Page Options

32 (A)“Bulijjo Abaleevi banaabanga ba ddembe okununula amayumba gaabwe agali mu bibuga byabwe eby’Abaleevi bye balinako obwannannyini. 33 Era Omuleevi bw’anaabanga takozesezza ddembe lye ery’okununula, kale ennyumba eyatundirwa mu kibuga Abaleevi kye balinako obwannannyini, eneemuddiranga mu Jjubiri; kubanga mu bantu ba Isirayiri ennyumba eziri mu bibuga by’Abaleevi za Baleevi. 34 (B)Naye ennimiro eziri ku ttaka lya wamu ery’ebibuga byabwe teziitundibwenga; kubanga ezo zaabwe za bwannannyini obw’olubeerera.

Read full chapter

(A)kubanga Musa yali agabidde ebika ebibiri n’ekitundu omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani, naye Abaleevi bo teyabagabira;

Read full chapter

(A)kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu[a], bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:4 Manase ne Efulayimu Yakobo yali yeetwalidde abaana ba Yusufu okuba ababe (Lub 48:5). Noolwekyo baali bateekwa okugabana ku by’obusika ng’abaana abalala bonna aba Yakobo.