Add parallel Print Page Options

Ebibonerezo ebiva mu Bujeemu

14 (A)“Naye bwe mutampulirenga, ne mutagondera biragiro ebyo byonna, 15 era bwe munaanyoomoolanga ebiragiro byange ne mukyawa amateeka gange, ne mulemwa okutuukiriza ebiragiro byange ebyo byonna, bwe mutyo ne mutakuumanga ndagaano yange, 16 (B)kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ez’embagirawo, n’obulwadde obw’olukonvuba obubalumya akasiiso n’omusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya. 17 (C)Ndibeefuukira, abalabe bammwe n’okubawangula ne babawangula; abo ababakyawa banaabafuganga, ne mudduka n’okudduka so nga tewali abagoba.

Read full chapter

(A)Kaakano muleke mbabuulire
    kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.
Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.
    Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.
(B)Era ndigireka n’ezika,
    sirigirima wadde okugisalira.
    Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.
Ndiragira n’ebire
    obutatonnyesaamu nkuba.

(C)Ennyumba ya Isirayiri
    y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.
Abantu ba Yuda
    y’ennimiro gye yasiima.
Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.
    Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.

Read full chapter