Add parallel Print Page Options

16 (A)kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ez’embagirawo, n’obulwadde obw’olukonvuba obubalumya akasiiso n’omusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya.

Read full chapter

36 (A)“Mu mmwe, abaliba basigaddewo nga bakyali balamu, nditeeka okutya mu mitima gyabwe nga bali eyo mu nsi z’abalabe baabwe, nga n’eddoboozi ly’akakoola k’omuti akafuumuulibwa n’empewo kabatiisa. Banaddukanga ng’abaliko abalabe ab’ebitala ababagoba, banaagwanga newaakubadde nga tewaabeerengawo babawondera.

Read full chapter