Add parallel Print Page Options

44 (A)Newaakubadde ng’ebyo biriba bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi z’abalabe baabwe, siibeggyengako wadde okubakyawanga n’okumenyawo ne mmenyerawo ddala endagaano yange gye nalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe.

Read full chapter

14 (A)N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.

Read full chapter

Olukalala olw’Abawaŋŋangusibwa Abaddayo

(A)Bano be bantu ab’omu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.

Read full chapter

(A)Bano be bantu ab’omu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.

Read full chapter

(A)Amawanga gonna galimuweereza ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera eky’ensi ye okusalirwa omusango lwe kirituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka bangi ab’amaanyi balimuwangula.

Read full chapter