Add parallel Print Page Options

(A)“Ndibawa emirembe mu nsi ne mwebaka bulungi, so tewaabengawo anaabatiisatiisanga. Ebisolo ebikambwe ndibimalamu mu nsi yammwe, era temuubeerengamu ntalo.

Read full chapter

(A)Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
    n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
    era omwana omuto yalizirabirira.
Ente n’eddubu biririira wamu,
    abaana baazo banaagalamiranga wamu.
    Empologoma erirya omuddo ng’ente.
N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
    n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
(B)Tewalibeera kukolaganako bulabe
    wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
    ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.

Read full chapter

18 (A)Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
    n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
    bonna ne batuula mirembe.

Read full chapter