Add parallel Print Page Options

Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Abantu Bonna Boonoonye

13 (A)“ ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango. 14 (B)Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume y’ente entoototo mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. 15 (C)Abakulembeze b’ekibiina banassanga emikono gyabwe ku mutwe gwa sseddume eyo mu maaso ga Mukama, sseddume eyo n’ettirwa mu maaso ga Mukama. 16 (D)Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatwalangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 17 (E)Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansira emirundi musanvu awo eggigi ly’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. 18 (F)Anaddiranga ku musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi ogunaasigalangawo gwonna anaagufukanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 19 (G)Anaggyangamu amasavu gaayo gonna n’agookera ku kyoto, 20 (H)n’akola ku sseddume eno nga bwe yakola ku sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo kabona anaatangiririranga abantu bonna mu kibiina, era ne basonyiyibwa. 21 (I)Anaafulumyanga sseddume eno ebweru w’olusiisira n’agyokya nga bwe yayokya sseddume eri eyasooka. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi ku lw’ekibiina ky’abantu bonna.

Read full chapter

23 (A)Embuzi ennume ezaali ez’ekiweebwayo ku lw’ekibi ne zireetebwa mu maaso ga kabaka n’ekibiina, ne bazisaako emikono gyabwe,

Read full chapter