Add parallel Print Page Options

(A)“ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo eri Mukama olw’ekibi.

Read full chapter

18 (A)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, oliddira ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’ogiwaayo okutukuza awatukuvu. 19 (B)Kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mifuubeeto gy’enzigi za yeekaalu, ne ku nsonda ennya ez’ekyoto ne ku mifuubeeto egy’omulyango ogw’oluggya olw’omunda.

Read full chapter

15 (A)“ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

40 (A)kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri Mukama, si kulwa ng’afuuka nga Koola n’ekibiina kye. Eriyazaali bw’atyo bwe yabikola byonna ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa.

Read full chapter

46 (A)n’ekisenge ekyolekera Obukiikakkono kya bakabona abavunaanyizibwa ekyoto. Abo be batabani ba Zadooki, era be Baleevi bokka abasobola okusemberera Mukama okumuweereza.”

Read full chapter