Add parallel Print Page Options

22 (A)Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto.

Read full chapter

23 (A)Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna.

Read full chapter

23 (A)“Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti:

24 (B)“ ‘Mukama Katonda akuwe omukisa,
    akukuume;
25 (C)Mukama Katonda akwakize amaaso ge
    akukwatirwe ekisa;
26 (D)Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge
    akuwe emirembe.’ 

27 (E)“Bwe batyo banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isirayiri, nange naabawanga omukisa.”

Read full chapter

18 (A)Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow’eggye,

Read full chapter

14 (A)Ekibiina kyonna ekya Isirayiri bwe kyali kiyimiridde awo, kabaka n’abakyukira n’abasabira omukisa.

Read full chapter

55 (A)N’ayimirira n’asabira ekibiina kyonna ekya Isirayiri omukisa mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

Read full chapter

27 (A)Awo bakabona n’Abaleevi ne bayimirira ne basabira abantu omukisa, Katonda n’abawulira; kubanga okusaba kwabwe kwatuuka mu kifo kye ekitukuvu gy’abeera, mu ggulu.

Read full chapter