Add parallel Print Page Options

28 (A)“Naye omuntu yenna bw’anaamalanga okuwongera Mukama Katonda ku bintu bye by’anaabanga nabyo, gamba oba muntu oba kisolo oba ennimiro ye gye yasikira, tewaabengawo ku bintu ebyo bitundibwa oba okununulibwa; buli kintu ekiwongere ddala mu ngeri eyo kinaabanga kitukuvu nnyo eri Mukama Katonda. 29 Omuntu eyawongebwa nga wa kuttibwa, taanunulibwenga kinaamusaaniranga kuttibwa.

Read full chapter