Add parallel Print Page Options

17 (A)Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi.

Read full chapter

(A)Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”

Read full chapter

19 (A)atattira balangira ku liiso
    era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,
    kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?

Read full chapter

11 (A)Kubanga Katonda tasosola mu bantu.

Read full chapter

(A)Naye abo abaabalibwa ng’okuba ekintu eky’omuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako,

Read full chapter

(A)Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.

Read full chapter

25 (A)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

Read full chapter

17 (A)Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno.

Read full chapter