Add parallel Print Page Options

Ekiragiro ky’Okwagalanga Mukama Katonda

11 (A)Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye by’akukuutira, n’ebiragiro bye, n’amateeka ge ennaku zonna. (B)Mutegeere nga ku lunaku lwa leero soogera na baana bammwe abataamanya era abataalaba ku kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, n’ekitiibwa kye n’omukono gwe ogw’amaanyi, era ogw’obukuumi; era abataalaba ku byamagero bye yakola n’ebintu byonna bye yakolera wakati mu Misiri, ku Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’eri ensi ye yonna; (C)ne bye yakola eggye lya Misiri n’embalaasi zaalyo n’amagaali gaalyo; era nga amaggye ago bwe yagazikiririza mu mazzi ag’omu Nnyanja Emyufu bwe gaali nga gabagoberera, n’agamalirawo ddala n’okutuusa leero. Abaana bammwe si be baalaba ebyo byonna Mukama bye yabakolera okuva nga muli mu ddungu n’okutuuka wano mu kifo kino, (D)era ne kye yakola Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, mutabani wa Lewubeeni, ettaka bwe lyayasamya akamwa kaalyo, wakati mu baana ba Isirayiri bonna, ne libamira n’ab’omu maka gaabwe bonna, n’eweema ez’ensiisira zaabwe zonna, ne buli kiramu kyabwe kyonna kye baalinako obwannannyini. Naye mmwe bennyini mwe mwabiraba n’amaaso gammwe, ebintu ebyo ebikulu Mukama by’azze akola.

Ekiragiro ky’Okukwatanga Amateeka

(E)Noolwekyo mukwatenga amateeka gonna ge mbalagira leero, mulyoke mubeere n’amaanyi okuyingira mu nsi gye mujja okwefunira, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani, (F)bwe mutyo mulyoke muwangaalenga nga muli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa awamu ne bazzukulu baabwe, ng’eyo ye nsi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10 Kubanga ensi gy’ogenda okuyingira, ogyefunire, tefaanaana ng’ensi y’e Misiri, gye mwava, gye wasimbanga ensigo zo n’ozifukiriranga n’ebbomba gye wasambyanga ekigere, ng’afukirira ennimiro y’enva. 11 (G)Naye ensi gye mugenda okwefunira nga musomose omugga Yoludaani, ye nsi ey’ensozi n’ebiwonvu, enywa amazzi g’enkuba agava mu ggulu. 12 (H)Ye nsi Mukama Katonda wo gy’alabirira. Amaaso ga Mukama Katonda wo gabeera ku nsi eyo bulijjo, okuva ku ntandikwa y’omwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo.

13 (I)Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe yonna, 14 (J)kale, anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo: enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo, olyoke okungulenga emmere yo ey’empeke, weefunire ne wayini omusu n’amafuta. 15 (K)Era anaakuzanga omuddo mu malundiro go ente zo gwe zinaalyanga; naawe onoolyanga emmere n’okkuta.

16 (L)Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga. 17 (M)Kale obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirangako, n’aggalangawo eggulu, enkuba ne tetonnyanga, n’ettaka ne litabalangako bibala, ne muzikiriranga ne muggwaawo mangu ku nsi ennungi Mukama gy’abawa.

Abaana Abato Okuyigirizibwanga Amateeka

18 (N)Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe. 19 (O)Mubiyigirizenga abaana bammwe, ng’obinyumyako bw’onoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bw’onoobanga otambula mu nguudo; ne bw’onoogalamirangako, era ne bw’onoositukanga. 20 (P)Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi, 21 (Q)mmwe n’abaana bammwe mulyoke muwangaalenga nnyo, mumale ennaku nnyingi nga ebbanga eggulu lye lirimala nga liri waggulu w’ensi, nga muli mu nsi Mukama gye yasuubiza bajjajjammwe okugibawa.

22 (R)Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumunywererangako; 23 (S)kale, Mukama anaagobangamu amawanga ago gonna aganaabanga mu maaso gammwe, ne mwefunira ensi z’amawanga ago agabasinga mmwe obunene era n’amaanyi. 24 (T)Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, n’okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba. 25 (U)Tewaabengawo muntu n’omu anaasobolanga okubaziyiza. Mukama Katonda wammwe aliteeka entiisa n’ekikangabwa mu bannansi bonna, buli we munaagendanga, nga bwe yabasuubiza.

Omukisa n’Ekikolimo

26 (V)Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’ekikolimo. 27 (W)Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero; 28 (X)ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi. 29 (Y)Mukama Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogyetwalire ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira, omukisa oguteekanga ku lusozi Gerizimu, n’ekikolimo ku lusozi Ebali. 30 (Z)Ensozi ezo ziri mitala wa Yoludaani ku ludda olw’ebugwanjuba obw’oluguudo ng’oyolekedde enjuba gy’egwa, okumpi n’emiti eminene egy’e Mole, mu nsi y’Abakanani ababeera mu Alaba ku miriraano gya Girugaali. 31 (AA)Muli kumpi okusomoka omugga Yoludaani mwefunire ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa. Bwe mulimala okugyetwalira, nga mwe mubeera, 32 mwegenderezenga nnyo mugonderenga amateeka gonna, n’ebiragiro bye nteeka mu maaso gammwe leero.

Love and Obey the Lord

11 Love(A) the Lord your God and keep his requirements, his decrees, his laws and his commands always.(B) Remember today that your children(C) were not the ones who saw and experienced the discipline of the Lord your God:(D) his majesty,(E) his mighty hand, his outstretched arm;(F) the signs he performed and the things he did in the heart of Egypt, both to Pharaoh king of Egypt and to his whole country;(G) what he did to the Egyptian army, to its horses and chariots,(H) how he overwhelmed them with the waters of the Red Sea[a](I) as they were pursuing you, and how the Lord brought lasting ruin on them. It was not your children who saw what he did for you in the wilderness until you arrived at this place, and what he did(J) to Dathan and Abiram, sons of Eliab the Reubenite, when the earth opened(K) its mouth right in the middle of all Israel and swallowed them up with their households, their tents and every living thing that belonged to them. But it was your own eyes that saw all these great things the Lord has done.(L)

Observe therefore all the commands(M) I am giving you today, so that you may have the strength to go in and take over the land that you are crossing the Jordan to possess,(N) and so that you may live long(O) in the land the Lord swore(P) to your ancestors to give to them and their descendants, a land flowing with milk and honey.(Q) 10 The land you are entering to take over is not like the land of Egypt,(R) from which you have come, where you planted your seed and irrigated it by foot as in a vegetable garden. 11 But the land you are crossing the Jordan to take possession of is a land of mountains and valleys(S) that drinks rain from heaven.(T) 12 It is a land the Lord your God cares for; the eyes(U) of the Lord your God are continually on it from the beginning of the year to its end.

13 So if you faithfully obey(V) the commands I am giving you today—to love(W) the Lord your God and to serve him with all your heart and with all your soul(X) 14 then I will send rain(Y) on your land in its season, both autumn and spring rains,(Z) so that you may gather in your grain, new wine and olive oil. 15 I will provide grass(AA) in the fields for your cattle, and you will eat and be satisfied.(AB)

16 Be careful, or you will be enticed to turn away and worship other gods and bow down to them.(AC) 17 Then the Lord’s anger(AD) will burn against you, and he will shut up(AE) the heavens so that it will not rain and the ground will yield no produce,(AF) and you will soon perish(AG) from the good land the Lord is giving you. 18 Fix these words of mine in your hearts and minds; tie them as symbols on your hands and bind them on your foreheads.(AH) 19 Teach them to your children,(AI) talking about them when you sit at home and when you walk along the road, when you lie down and when you get up.(AJ) 20 Write them on the doorframes of your houses and on your gates,(AK) 21 so that your days and the days of your children may be many(AL) in the land the Lord swore to give your ancestors, as many as the days that the heavens are above the earth.(AM)

22 If you carefully observe(AN) all these commands I am giving you to follow—to love(AO) the Lord your God, to walk in obedience to him and to hold fast(AP) to him— 23 then the Lord will drive out(AQ) all these nations(AR) before you, and you will dispossess nations larger and stronger than you.(AS) 24 Every place where you set your foot will be yours:(AT) Your territory will extend from the desert to Lebanon, and from the Euphrates River(AU) to the Mediterranean Sea. 25 No one will be able to stand against you. The Lord your God, as he promised you, will put the terror(AV) and fear of you on the whole land, wherever you go.(AW)

26 See, I am setting before you today a blessing(AX) and a curse(AY) 27 the blessing(AZ) if you obey the commands of the Lord your God that I am giving you today; 28 the curse if you disobey(BA) the commands of the Lord your God and turn from the way that I command you today by following other gods,(BB) which you have not known. 29 When the Lord your God has brought you into the land you are entering to possess, you are to proclaim on Mount Gerizim(BC) the blessings, and on Mount Ebal(BD) the curses.(BE) 30 As you know, these mountains are across the Jordan, westward, toward the setting sun, near the great trees of Moreh,(BF) in the territory of those Canaanites living in the Arabah in the vicinity of Gilgal.(BG) 31 You are about to cross the Jordan to enter and take possession(BH) of the land the Lord your God is giving(BI) you. When you have taken it over and are living there, 32 be sure that you obey all the decrees and laws I am setting before you today.

Footnotes

  1. Deuteronomy 11:4 Or the Sea of Reeds