Add parallel Print Page Options

(A)Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.

Read full chapter

12 (A)Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe.

Read full chapter