Add parallel Print Page Options

kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw’abawa.

Read full chapter

25 (A)n’ensi n’efuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olw’ebyonoono byayo, n’abantu baamu abagibeeramu n’ebasesema. 26 Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange n’amateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga n’omu anaakolanga ku bintu ebyo n’akatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo. 27 Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi n’efuuka etali nnongoofu. 28 Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu.

29 “ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ng’abo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe.

Read full chapter

38 (A)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
    abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
    ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (B)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
    ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

Read full chapter