Add parallel Print Page Options

17 (A)Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo,

Read full chapter

11 (A)Ndi wamu nammwe
    era ndibalokola,
wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,
    siribazikiririza ddala mmwe,’
    bw’ayogera Mukama.
Ndibakangavvula n’obwenkanya,
    siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.

Read full chapter

(A)“Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza.

Read full chapter

19 (A)Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,
    oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.
Ayogera n’atakola?
    Asuubiza n’atatuukiriza?

Read full chapter