Add parallel Print Page Options

(A)Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, bakatonda ab’abantu ababeetoolodde, ab’oku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gy’etandikira ne gy’ekoma, (B)tomuwulirizanga, so by’anaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga. (C)Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo. 10 Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. 11 (D)Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo.

Read full chapter