Add parallel Print Page Options

17 (A)Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu n’effeeza ennyingi ennyo.

Read full chapter

Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, n’abakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya.

Read full chapter

26 (A)Okufumbiriganwa okw’engeri eyo, si kwe kwaleetera Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga gonna, tewaali kabaka nga ye. Yali ayagalibwa nnyo Katonda, era Katonda yamufuula kabaka wa Isirayiri yonna, kyokka abakazi bannaggwanga amalala, baamuwabya, n’akola ebibi.

Read full chapter

Okulabula ku Bwenzi

(A)Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange,
    era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
olyoke oyige okusalawo okw’amagezi,
    era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
(B)Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
    n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
(C)naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
    era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
(D)Ebigere bye bituuka mu kufa,
    ebisinde bye biraga emagombe.
(E)Tafaayo ku kkubo lya bulamu,
    amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

(F)Kaakano, batabani bange mumpulirize,
    temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.
(G)Mwewalenga omukazi oyo
    era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;
si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,
    n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
10 ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,
    n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.
11 Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,
    ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.
12 (H)Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa,
    n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,
13 era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,
    wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
14 Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira
    nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”

Read full chapter