Ekyamateeka Olwokubiri 18:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Nzija kubayimusiza Nnabbi ali nga ggwe okuva wakati mu bo; Nze nnaasanga ebigambo byange mu kammwe ke, ye n’abategeezanga bye nnaamulagiranga.
Read full chapter
Isaaya 59:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.
Read full chapter
Okuva 33:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nnaakuteeka mu mpataanya mu lwazi, ne nkubikkako omukono gwange okutuusa lwe nnaamala okuyitawo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.