Add parallel Print Page Options

20 (A)Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”

Read full chapter

23 (A)Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,
    bye bateesa banzite.
Tobasonyiwa byonoono byabwe
    wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.
Obawangulire ddala,
    era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.

Read full chapter

(A)Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”

Read full chapter

66 (A)Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”

Read full chapter

11 (A)Kyebaava baweerera abantu nga bagamba nti twamuwulira ng’ayogera ebigambo ebivvoola Musa ne Katonda.

Read full chapter