Add parallel Print Page Options

Abaleevi Bakabona

18 (A)Bakabona, Abaleevi n’ekika kyonna ekya Leevi, tebaafunenga mugabo oba bya busika mu Isirayiri. Banaaweebwanga ku biweebwayo ebyokebwa ebinaaleetebwanga eri Mukama Katonda; ogwo gwe gunaabanga omugabo ogw’obusika bwabwe. Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga Mukama Katonda yabasuubiza nga y’anaabanga obusika bwabwe.

(B)Bino bakabona bye banaagabananga ku biweebwayo eby’ente za sseddume n’endiga abantu bye banaabanga baleese: bakabona banaafunangako omukono n’emba zombi, n’eby’omu lubuto. (C)Era onoobawanga ebibala byo ebibereberye eby’emmere ey’empeke, n’ebya wayini wo, n’amafuta go, n’ebyoya ebisooka eby’endiga zo. (D)Kubanga Mukama Katonda wo yeeroboza Leevi n’ezzadde lye mu bika byo byonna okuweerezanga mu linnya lya Mukama emirembe n’emirembe. (E)Omuleevi bw’anaavanga mu kimu ku bibuga byo ebiri mu Isirayiri gy’abadde atuula, n’ajja nga bw’anaabanga yeeteeserezza, n’ajja mu kifo Mukama Katonda ky’aneeronderanga, anaayinzanga okuweereza mu linnya lya Mukama Katonda we okufaanana nga Abaleevi banne abalala aba buli kiseera abanaabanga baweereza mu linnya lya Mukama Katonda mu kifo ekyo. (F)Anaagabananga kyenkanyi ne banne abaabulijjo, ne bw’anaabanga ng’alina ensimbi ezize ku bubwe z’anaabanga aggye mu by’omu maka ge by’atunze.

Okuwera Empisa ez’Obulogo n’Obusamize

(G)Bw’onooyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, weekuume obutayiga kukopperera mpisa embi ez’abantu ab’omu mawanga g’olisanga mu nsi omwo. 10 (H)Tewabeerangawo omuntu n’omu alirabika ng’ayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ng’ekiweebwayo, oba ng’akola ng’omulaguzi, oba omulogo, oba omusawo w’ekinnansi, oba avvuunula eby’omu biseera ebijja, 11 oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera n’emizimu, oba eyeebuuza ku baafa. 12 (I)Omuntu yenna anaakolanga ebintu ng’ebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga ab’omu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ng’ogiyingira. 13 Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga Mukama Katonda wo. 14 Newaakubadde ng’abantu ab’omu mawanga ago b’ogenda okulyako ensi yaabwe, bagondera nnyo abalaguzi n’abasamize, naye ebyo Mukama Katonda wo, ggwe, takukkiriza kubikola.

Okusuubizibwa Nnabbi Omuggya

15 (J)Mukama Katonda wo agenda kukuyimusiza Nnabbi ali nga nze, ng’amuggya mu bantu bo. Nnabbi oyo mumuwulirizanga era mumugonderanga. 16 (K)Kubanga ekyo kye wasaba Mukama Katonda wo ku lunaku olw’okukuŋŋaana ku lusozi Kolebu ng’ogamba nti, “Sisaanidde kuddayo nate kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wange wadde okuddayo okulaba omuliro guno omungi, nneme okufa.”

17 Mukama Katonda kwe kunnyanukula nti, “Kye bagambye kirungi era kituufu. 18 (L)Nzija kubayimusiza Nnabbi ali nga ggwe okuva wakati mu bo; Nze nnaasanga ebigambo byange mu kammwe ke, ye n’abategeezanga bye nnaamulagiranga. 19 (M)Omuntu yenna ataagonderenga bigambo Nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lyange, Nze kennyini, Nze nnaamwekolerangako. 20 (N)Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”

21 Oyinza okwebuuza nti, “Tunaamanyanga tutya ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’anaabanga abyogedde?” 22 (O)Ebigambo nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lya Mukama bwe bitaatuukirirenga oba bwe bitaabenga bya mazima, ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’abyogedde. Nnabbi oyo by’anaabanga ayogedde anaabanga abiyiiyizza buyiiya. Ebyo tebibatiisanga.

Offerings for Priests and Levites

18 The Levitical(A) priests—indeed, the whole tribe of Levi—are to have no allotment or inheritance with Israel. They shall live on the food offerings(B) presented to the Lord, for that is their inheritance.(C) They shall have no inheritance among their fellow Israelites; the Lord is their inheritance,(D) as he promised them.(E)

This is the share due the priests(F) from the people who sacrifice a bull(G) or a sheep: the shoulder, the internal organs and the meat from the head.(H) You are to give them the firstfruits of your grain, new wine and olive oil, and the first wool from the shearing of your sheep,(I) for the Lord your God has chosen them(J) and their descendants out of all your tribes to stand and minister(K) in the Lord’s name always.(L)

If a Levite moves from one of your towns anywhere in Israel where he is living, and comes in all earnestness to the place the Lord will choose,(M) he may minister in the name(N) of the Lord his God like all his fellow Levites who serve there in the presence of the Lord. He is to share equally in their benefits, even though he has received money from the sale of family possessions.(O)

Occult Practices

When you enter the land the Lord your God is giving you, do not learn to imitate(P) the detestable ways(Q) of the nations there. 10 Let no one be found among you who sacrifices their son or daughter in the fire,(R) who practices divination(S) or sorcery,(T) interprets omens, engages in witchcraft,(U) 11 or casts spells,(V) or who is a medium or spiritist(W) or who consults the dead. 12 Anyone who does these things is detestable to the Lord; because of these same detestable practices the Lord your God will drive out those nations before you.(X) 13 You must be blameless(Y) before the Lord your God.(Z)

The Prophet

14 The nations you will dispossess listen to those who practice sorcery or divination.(AA) But as for you, the Lord your God has not permitted you to do so. 15 The Lord your God will raise up for you a prophet like me from among you, from your fellow Israelites.(AB) You must listen to him. 16 For this is what you asked of the Lord your God at Horeb on the day of the assembly when you said, “Let us not hear the voice of the Lord our God nor see this great fire anymore, or we will die.”(AC)

17 The Lord said to me: “What they say is good. 18 I will raise up for them a prophet(AD) like you from among their fellow Israelites, and I will put my words(AE) in his mouth.(AF) He will tell them everything I command him.(AG) 19 I myself will call to account(AH) anyone who does not listen(AI) to my words that the prophet speaks in my name.(AJ) 20 But a prophet who presumes to speak in my name anything I have not commanded, or a prophet who speaks in the name of other gods,(AK) is to be put to death.”(AL)

21 You may say to yourselves, “How can we know when a message has not been spoken by the Lord?” 22 If what a prophet proclaims in the name of the Lord does not take place or come true,(AM) that is a message the Lord has not spoken.(AN) That prophet has spoken presumptuously,(AO) so do not be alarmed.