Add parallel Print Page Options

32 (A)Kabaka Sikoni n’eggye lye lyonna ne batulumba mu lutabaalo olw’e Yakazi.

Read full chapter

Okuwangula Ogi Kabaka w’e Basani

(A)Awo ne tukyuka ne twambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi, Kabaka w’e Basani, n’afuluma n’eggye lye lyonna n’ajja okututabaala mu lutalo olwalwanirwa mu Ederei.

Read full chapter

Sikoni Awangulwa

21 (A)Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,

22 (B)“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”

23 (C)Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. 24 (D)Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe.

Read full chapter

33 (A)Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei.

34 (B)Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”

35 Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu[a]. Ensi ye ne bagirya.

Read full chapter

Footnotes

  1. 21:35 Oluvannyuma lw’obuwanguzi obwo, Isirayiri yafuga ebuvanjuba bwa Yoludaani bwonna okuviira ddala mu Mowaabu okutuuka ku nsozi za Basani mu nsi y’e Kerumooni. Abayisirayiri baateranga okuyimba ennyimba n’okujaguza olw’okuwangula Sikoni ne Ogi (Zab 135:10-11; 136:19-20).