Add parallel Print Page Options

(A)Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mirimu gyonna gy’okola n’emikono gyo. Amanyi nti otambulira mu ddungu lino eddene ennyo bwe lityo. Era Mukama Katonda wammwe abadde akulabirira emyaka gino gyonna amakumi ana, ng’abeera naawe, era nga buli kye weetaaga akikuwa.

Read full chapter

23 (A)tewalibaawo n’omu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo n’omu ku bo abannyoomye aligirabako.

Read full chapter

29 (A)Mulifiira mu ddungu muno n’emirambo gyammwe mwe girisigala; mwenna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo egy’obukulu nga bwe mwamala okubalibwa, abanneemulugunyiza. 30 Tewaliba n’omu ku bo aliyingira mu nsi gye neelayirira nti ge galibeera amaka gammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 31 (B)Naye abaana bammwe abato, be mwogeddeko nti balifuulibwa omunyago, ndibayingiza mu nsi eyo gye mugaanye ne beeyagalira omwo. 32 (C)Naye mmwe, emirambo gyammwe girisigala mu ddungu muno mwe girigwa. 33 Mmwe olw’obutabeera beesigwa, abaana bammwe balimala emyaka amakumi ana mu ddungu nga bwe balunda ebisibo byabwe okutuusa omulambo gw’oyo alisembayo okufa lwe guliziikibwa mu ddungu muno. 34 (D)Nga bwe mwamala ennaku amakumi ana nga muketta ensi eri, bwe mutyo bwe mujja okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, nga buli lumu ku nnaku ezo muvaamu mwaka gumu gumu; muboneebone olw’ebibi byammwe, mulyoke mutegeere obuzibu obw’okunneesimbamu. 35 (E)Nze, Mukama Katonda, nkyogedde; ddala ddala ekyo ndikikola ku kibiina kyonna eky’abantu bano aboonoonyi abeegasse awamu okunjolekera. Tebagenda kuva mu ddungu lino, bonna mwe balifiira.’ ”

Read full chapter

14 (A)Olwo nga kasookedde tuva mu Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Ekiseera ekyo we kyaggweerako ng’abasajja abalwanyi bonna mu lusiisira lw’abaana ba Isirayiri, ab’omu mulembe ogwo, nga bafudde baweddewo, nga Mukama Katonda bwe yabalayirira.

Read full chapter

(A)Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi.

Read full chapter