Add parallel Print Page Options

(A)Abaami banaayogeranga eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe alina ennyumba empya gye yeezimbira naye nga tennatukuzibwa? Kimusanidde addeyo mu nnyumba ye, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omulala n’agitukuza.

Read full chapter

(A)Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala.

Read full chapter

16 (A)Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa.

Read full chapter

28 (A)Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga baleekaana n’amaloboozi ag’essanyu, n’eddoboozi ery’eŋŋombe, ery’amakondeere, n’ebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga.

Read full chapter

(A)Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka.

Read full chapter

(A)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
    n’endere awamu n’entongooli.

Read full chapter