Add parallel Print Page Options

21 (A)“Bw’oneeyamanga obweyamo eri Mukama tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala Mukama Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olw’ekibi ekyo. 22 Naye bw’oteeyamanga bweyamo toobeerengako musango. 23 Ebyo byonna akamwa ko bye kanaayogeranga kikugwanira okubikolanga, mu ngeri y’emu nga bw’onoobanga weeyamye obweyamo eri Mukama Katonda wo n’akamwa ko.

Read full chapter

35 (A)Yefusa bwe yamulaba, n’ayuza engoye ze, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri Mukama Katonda, so siyinza kukimenyawo.”

Read full chapter

27 (A)Olimusaba, alikuwulira,
    era olituukiriza obweyamo bwo.

Read full chapter

25 (A)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
    Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.

Read full chapter

14 (A)“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
    era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.

Read full chapter

14 (A)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna.

Read full chapter

25 (A)Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,
    naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.

Read full chapter

(A)Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo.

Read full chapter

(A)Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye.

Read full chapter

16 (A)Abasajja ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ekiweebwayo gy’ali ne beeyama obweyamo.

Read full chapter