Add parallel Print Page Options

(A)Ente[a] temugisibanga mimwa bwe munaabanga mugikozesa okuwuula emmere ey’empeke.

Read full chapter

Footnotes

  1. 25:4 Ente ezo zaakozesebwanga okuwuula emmere ey’empeke. Ente yasibibwanga ku lubengo olunene, ebigere byayo ne birinnyirira empeke, nga biggya ebikuta ku mpeke, ate olubengo nga bwe lussa empeke okuzifuulamu obuwunga.

18 (A)Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.”

Read full chapter

Okuyambagana

22 (A)Bw’olabanga ente ya munno, oba endiga ye, ng’ebula okuva ewaabayo, togirekanga bulesi ne weesuulirayo ogwa nnaggamba naye ogikwatanga n’ogizzaayo ewa nnyiniyo. Nannyini yo bw’abanga tasula kumpi naawe, obanga nannyini yo tomumanyi, ogireetanga mu maka go n’obeeranga nayo okutuusa nannyini yo lw’alijja ng’aginoonya; olwo nno n’olyoka ogimuddiza. Okolanga bw’otyo ng’osanze endogoyi ya munno, obanga olonze ekyambalo kya munno, oba ekintu kyonna ekirala munno ky’anaabanga abuliddwa kyokka ggwe n’okironda. Tolemanga kuyamba munno ng’ali mu buzibu, ate nga wandisobodde okumuyamba. Obusobozi bw’onoobanga nabwo okuyamba munno tobumukwekanga.

(B)Bw’onoolabanga endogoyi ya munno, oba ente ye, ng’egudde ku kkubo, togiyitangako buyisi, wabula omuyambanga okugiyimusa.

Read full chapter