Add parallel Print Page Options

(A)kale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga n’alaga awali omusajja oyo mu maaso g’abakulembeze abakulu b’omu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso n’ayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.”

Read full chapter

(A)“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
    anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.

Read full chapter

(A)Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;
    nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10 (B)abatanjagala abanneesalako,
    banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.

Read full chapter

(A)N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,
    n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.
Saakweka maaso gange eri abo abansekerera
    n’eri abo abanfujjira amalusu.

Read full chapter

46 (A)Ebbanga lyonna omuntu ly’anaamalanga ng’alina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru w’olusiisira.

Read full chapter

(A)“Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu. (B)Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.”

Read full chapter