Add parallel Print Page Options

15 (A)“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

16 (B)“Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

17 (C)“Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

18 (D)“Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

19 (E)“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

20 (F)“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

21 (G)“Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

22 (H)“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

23 (I)“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

24 (J)“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

25 (K)“Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

26 (L)“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

Read full chapter

36 (A)Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri
    ow’emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”

Read full chapter

(A)Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.

Read full chapter

48 (A)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
    emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.

Read full chapter

14 (A)Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” N’abakadde ne bavuunama ne bamusinza.

Read full chapter

12 (A)Ne bayimba nti,

“Amiina!
Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi,
n’okwebazibwa, n’ettendo,
n’obuyinza, n’amaanyi,
bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Amiina!”

Read full chapter

24 ne yeebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’agamba nti, “Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”

Read full chapter