Add parallel Print Page Options

49 (A)Mukama alikuleetera eggwanga eririva ewala ennyo, ku nkomerero y’ensi, ne likulumba, nga likukkako ng’empungu bw’eva waggulu n’ekka n’amaanyi ku nsi; liriba eggwanga ng’olulimi lwalyo tolutegeera.

Read full chapter

26 (A)Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera,
    alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi,
era laba,
    balyanguwako okujja.[a]
27 (B)Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala.
    Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka.
Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye,
    wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.
28 (C)Obusaale bwabwe bwogi,
    n’emitego gyabwe gyonna mireege.
Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,
    Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 5:26 Abalirumba baliba Basuuli.