Add parallel Print Page Options

11 (A)Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, n’obugazi bwa mita emu n’obutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba eky’Abamoni.

Read full chapter

26 (A)Mu biro ebyo Yowaabu n’alwana n’abaana ba Amoni, n’awamba Labba ekibuga kyabwe ekikulu.

Read full chapter

13 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye,
    yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
14 (B)Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba,
    era gulyokya ebigo byakyo.
Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo
    mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
15 Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
    ye n’abakungu be bonna,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter