Add parallel Print Page Options

12 (A)Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;
    so tewabangawo katonda mulala.
13 (B)Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,
    n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.
Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi
    n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
14 (C)ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo,
    n’amasavu ag’endiga ento n’ennume,
n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani,
    awamu n’eŋŋaano esinga obulungi,
wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.

15 (D)Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;
    ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.
Yava ku Katonda eyamukola,
    n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.

Read full chapter

13 (A)Ndimubonereza olw’ennaku
    ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
    n’agenda eri baganzi be,
    naye nze n’aneerabira,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter