Add parallel Print Page Options

28 Lye ggwanga omutali magezi,
    mu bo temuliimu kutegeera.
29 (A)Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,
    ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.

Read full chapter

(A)Wayogera nti,
    ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
    wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.

Read full chapter

13 (A)“ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.

Read full chapter

18 Gamba kabaka era ne namasole nti,
    “Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,
kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa
    zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”

Read full chapter

Amaziga g’Abanyigirizibwa

(A)Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.

Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,
    era nga tebalina wakugabasangulako!
Ababanyigiriza baalina obuyinza,
    kyokka nga tewali asobola kubagambako.

Read full chapter

(A)Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.

Read full chapter

18 (A)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
    onzigyeko ebibi byange byonna.

Read full chapter