Add parallel Print Page Options

17 (A)Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye
    amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu;
anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza,
    n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi.
Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu
    nga ze nkumi za Manase.”

Read full chapter

18 Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana. 19 (A)Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?”

N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.”

20 Awo Mukama n’andaga abaweesi bana. 21 (B)Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?”

N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”

Read full chapter