Add parallel Print Page Options

Isirayiri n’Amawanga Amalala

(A)Mukama Katonda wo bw’akutuusanga mu nsi mw’ojja okuyingira, ogyetwalire okuba obutaka bwo, nga n’amawanga mangi amaze okugagobamu, n’amawanga gano omusanvu agakusinga obunene n’amaanyi: Abakiiti, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, (B)Mukama Katonda wo ng’amaze okugagabula mu mukono gwo, ng’obawangudde, kikugwanira obazikiririze ddala. Tokolanga nabo ndagaano, so tobakwatirwanga kisa. (C)Tofumbiriganwanga nabo. Towangayo muwala wo kufumbirwanga mutabani we, oba mutabani we okuwasanga muwala wo. (D)Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako n’akuzikiriza mangu. (E)Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro. (F)Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira ly’asuuta ennyo.

(G)Mukama okugenda okubalonda n’okubaagala ennyo bw’atyo; si lwa kubanga mwe mwali musinga amawanga amalala gonna obungi; nedda, mwe mwali musinga obutono mu mawanga gonna. (H)Naye lwa kubanga Mukama Katonda yabaagala, n’akuuma endagaano gye yakola ne bajjajjammwe, n’abanunula n’omukono gwe ogw’amaanyi ng’abaggya mu nsi ey’obuddu, n’abawonya obuyinza bwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. (I)Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye ey’okwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi. 10 Naye

abo abamukyawa alibeesasuza n’okuzikirizibwa;
    tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.

11 Noolwekyo weegenderezenga nnyo ogonderenga amateeka n’ebiragiro bye nkugamba olunaku lwa leero.

12 (J)Bwe munaakwatanga amateeka ago, ne mugagonderanga n’obwegendereza, ne Mukama Katonda wo agenda kukuumanga endagaano ye, gye yakola ne bajjajjaabo ey’okwagala kwe okutaggwaawo.

13 (K)Agenda kukwagalanga, akuwenga omukisa; era alikwaza ne weeyongera obungi. Aliwa omukisa ezzadde lyo n’ebibala eby’oku ttaka lyo, n’emmere yo ey’empeke, ne wayini wo, n’amafuta go, n’ennyana ez’ente zo, n’abaana ab’endiga zo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo, okugikuwa. 14 (L)Onoofunanga omukisa okusinga amawanga amalala gonna; tewaabengawo musajja oba mukazi mugumba mu mmwe, wadde ente zammwe ezitaazaalenga. 15 (M)Mukama takkirizenga ndwadde yonna kukukwata. So taakuleeterenga ndwadde ezo ez’akabi, ze wamanyanga, ez’e Misiri, naye anaazireeteranga abo bonna abakukyawa. 16 (N)Onoozikirizanga abo bonna Mukama Katonda b’anaakuwanguzanga, tobatunuulizanga liiso lya kisa, tobabbiranga ku liiso. So toweerezanga bakatonda baabwe, kubanga ogwo gugendanga kukufuukira mutego.

Katonda Aliwangula Amawanga

17 (O)Oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti, “Amawanga ag’amaanyi gatyo okutusinga, tulisobola tutya okugagoba mu nsi zaago?” 18 (P)Naye amawanga ago togatyanga; ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Falaawo ne Misiri yonna. 19 (Q)Weerabirako n’amaaso go gennyini ebibonoobono, n’obubonero obw’ebyamagero, n’eby’ekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi y’e Misiri n’omukono gwe omuwanvu ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo bw’atyo bw’anaakolanga amawanga ago gonna g’otya. 20 (R)Ate Mukama Katonda wo anaaweerezanga ennumba mu balabe bo ne zibaluma, okutuusa n’abo abanaabanga basigaddewo mu lutalo, nga beekwese, lwe ziribazikiririza ddala. 21 (S)Tobatyanga, kubanga Mukama Katonda wo abeera wakati mu mmwe, mukulu era wa ntiisa. 22 (T)Mukama Katonda wo amawanga ago anaagendanga agaggyawo linnalimu, mpola mpola. Toligazikiriza gonna mulundi gumu, si kulwa ng’ensolo ez’omu nsiko zaala ne zikuyitirira obungi. 23 Naye Mukama Katonda wo anaagagabulanga mu mukono gwo n’ageeraliikirizanga ng’agatabuddetabudde, okutuusa lwe ganaazikirizibwanga. 24 (U)Anaagabulanga bakabaka baago mu mukono gwo n’osangulira ddala amannya gaabwe okuva wansi w’eggulu. Tewaabengawo muntu n’omu anaayimiriranga mu maaso go okukwaŋŋanga, ojjanga kubazikiriza. 25 (V)Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo. 26 (W)Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ng’ekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.

Driving Out the Nations

When the Lord your God brings you into the land you are entering to possess(A) and drives out before you many nations(B)—the Hittites,(C) Girgashites,(D) Amorites,(E) Canaanites, Perizzites,(F) Hivites(G) and Jebusites,(H) seven nations larger and stronger than you— and when the Lord your God has delivered(I) them over to you and you have defeated them, then you must destroy(J) them totally.[a](K) Make no treaty(L) with them, and show them no mercy.(M) Do not intermarry with them.(N) Do not give your daughters to their sons or take their daughters for your sons, for they will turn your children away from following me to serve other gods,(O) and the Lord’s anger will burn against you and will quickly destroy(P) you. This is what you are to do to them: Break down their altars, smash their sacred stones, cut down their Asherah poles[b](Q) and burn their idols in the fire.(R) For you are a people holy(S) to the Lord your God.(T) The Lord your God has chosen(U) you out of all the peoples on the face of the earth to be his people, his treasured possession.(V)

The Lord did not set his affection on you and choose you because you were more numerous(W) than other peoples, for you were the fewest(X) of all peoples.(Y) But it was because the Lord loved(Z) you and kept the oath he swore(AA) to your ancestors that he brought you out with a mighty hand(AB) and redeemed(AC) you from the land of slavery,(AD) from the power of Pharaoh king of Egypt. Know therefore that the Lord your God is God;(AE) he is the faithful God,(AF) keeping his covenant of love(AG) to a thousand generations(AH) of those who love him and keep his commandments.(AI) 10 But

those who hate him he will repay to their face by destruction;
    he will not be slow to repay to their face those who hate him.(AJ)

11 Therefore, take care to follow the commands, decrees and laws I give you today.

12 If you pay attention to these laws and are careful to follow them, then the Lord your God will keep his covenant of love with you, as he swore to your ancestors.(AK) 13 He will love you and bless you(AL) and increase your numbers.(AM) He will bless the fruit of your womb,(AN) the crops of your land—your grain, new wine(AO) and olive oil(AP)—the calves of your herds and the lambs of your flocks in the land he swore to your ancestors to give you.(AQ) 14 You will be blessed more than any other people; none of your men or women will be childless, nor will any of your livestock be without young.(AR) 15 The Lord will keep you free from every disease.(AS) He will not inflict on you the horrible diseases you knew in Egypt,(AT) but he will inflict them on all who hate you.(AU) 16 You must destroy all the peoples the Lord your God gives over to you.(AV) Do not look on them with pity(AW) and do not serve their gods,(AX) for that will be a snare(AY) to you.

17 You may say to yourselves, “These nations are stronger than we are. How can we drive them out?(AZ) 18 But do not be afraid(BA) of them; remember well what the Lord your God did to Pharaoh and to all Egypt.(BB) 19 You saw with your own eyes the great trials, the signs and wonders, the mighty hand(BC) and outstretched arm, with which the Lord your God brought you out. The Lord your God will do the same to all the peoples you now fear.(BD) 20 Moreover, the Lord your God will send the hornet(BE) among them until even the survivors who hide from you have perished. 21 Do not be terrified by them, for the Lord your God, who is among you,(BF) is a great and awesome God.(BG) 22 The Lord your God will drive out those nations before you, little by little.(BH) You will not be allowed to eliminate them all at once, or the wild animals will multiply around you. 23 But the Lord your God will deliver them over to you, throwing them into great confusion until they are destroyed.(BI) 24 He will give their kings(BJ) into your hand,(BK) and you will wipe out their names from under heaven. No one will be able to stand up against you;(BL) you will destroy them.(BM) 25 The images of their gods you are to burn(BN) in the fire. Do not covet(BO) the silver and gold on them, and do not take it for yourselves, or you will be ensnared(BP) by it, for it is detestable(BQ) to the Lord your God. 26 Do not bring a detestable thing into your house or you, like it, will be set apart for destruction.(BR) Regard it as vile and utterly detest it, for it is set apart for destruction.

Footnotes

  1. Deuteronomy 7:2 The Hebrew term refers to the irrevocable giving over of things or persons to the Lord, often by totally destroying them; also in verse 26.
  2. Deuteronomy 7:5 That is, wooden symbols of the goddess Asherah; here and elsewhere in Deuteronomy