Add parallel Print Page Options

(A)Ente[a] temugisibanga mimwa bwe munaabanga mugikozesa okuwuula emmere ey’empeke.

Read full chapter

Footnotes

  1. 25:4 Ente ezo zaakozesebwanga okuwuula emmere ey’empeke. Ente yasibibwanga ku lubengo olunene, ebigere byayo ne birinnyirira empeke, nga biggya ebikuta ku mpeke, ate olubengo nga bwe lussa empeke okuzifuulamu obuwunga.

10 Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye,
    naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.

Read full chapter

23 (A)Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo,
    ossangayo omwoyo ku ggana lyo.
24 (B)Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna,
    n’engule tebeerera mirembe gyonna.
25 Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo,
    nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,
26 abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala,
    n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
27 Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo,
    n’okuliisa abaweereza bo abawala.

Read full chapter

19 (A)Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola.

Read full chapter