Add parallel Print Page Options

10 (A)Yamuyisanga mu ddungu,
    mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.
Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,
    n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
11 (B)Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo,
    n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo,
era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula,
    n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
12 (C)Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;
    so tewabangawo katonda mulala.

Read full chapter

(A)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
    n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
    be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
(B)Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
    Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
    Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

Read full chapter

(A)Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,
    era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.
Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;
    yabayimusa
    n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.

Read full chapter

(A)Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,
    nga mbakwata ku mukono;
naye tebategeera
    nga nze nabawonya.

Read full chapter

18 (A)n’abagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu.

Read full chapter